2 Samuel 19:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wonna mu bika bya Yisirayeli abantu baali beebuuza nti: “Kabaka yatuwonya mu mikono gy'abalabe baffe; yennyini yatuwonya mu mikono gy'Abafilisitiini; ate kati adduse mu nsi olwa Abusalomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abusaalomu gwe twalonda okutufuga afiiridde mu lutalo. Kaakano kiki ekitulobera okukomyawo kabaka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga afiiridde mu lutalo. Kale nno kaakano kiki ekitulobera okwogera ku kigambo eky'okukomyawo kabaka Dawudi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Abusaalomu gwe twafukako omuzigo okutufuga, afiiridde mu lutalo. Kale temuliiko kye mwogera ku kya kukomyawo kabaka?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga afiiridde mu lutalo. Kale nno kiki ekibalobera okwogera ekigambo eky'okukomyawo kabaka?