2 Samuel 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu gwe twasiiga atufuge, afiiridde mu lutalo. Lwaki temubaako kye mugamba ku kuzza kabaka?” Ebyali byogerwa mu Yisirayeli wonna ne bituuka ewa kabaka mu lubiri lwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Dawudi n’atumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Mubuuze abakadde ba Yuda nti, ‘Lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka mu lubiri lwe, ebigambo nga byatuuse dda ku kabaka okuva mu Isirayiri yenna?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadoki ne Abiyasaali bakabona ng'ayogera nti, “Mugambe abakadde ba Yuda nti, ‘Lwaki mmwe muluddewo okuwagira ekigambo eky'okukomyawo kabaka mu nnyumba ye; kubanga ebigambo bya Isiraeri yenna eby'okukomyawo kabaka mu nnyumba ye bituuse gyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka Dawudi n'atumira Zaddooki ne Abiyataari bakabona ng'agamba nti: Mugambe abakulembeze mu Kika kya Yuda nti: “Lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu lubiri lwe? Ebigambo Abayisirayeli bonna bye bagambye, bimaze okutuuka ku kabaka mu nnyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona ng'ayogera nti Mugambe abakadde ba Yuda nti Kiki ekibalwisa mmwe okukira bonna okukomyawo kabaka mu nnyumba ye? kubanga ebigambo bya Isiraeri yenna bituuse eri kabaka, okumuleeta mu nnyumba ye.