2 Samuel 19:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka Dawudi n'atuma ewa Zadoki ne Abiyatari kabona, n'agamba nti: “Mugambe abakulu mu Yuda nti: ‘Lwaki mmwe musembyeyo okukomyawo kabaka mu lubiri lwe? Kubanga byonna ebyogeddwa mu Yisirayeli wonna bituuse kabaka mu lubiri lwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe muli baganda bange, mubiri gwange era musaayi gwange, naye lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe baganda bange ab'omusaayi gwange ddala. Kale lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu nnyumba ye?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe baganda bange ab'omusaayi gwange ddala. Kale lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu lubiri lwe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe muli baganda bange, mmwe muli magumba gange n'omubiri gwange: kale kiki ekibalwisa okukira bonna okukomyawo kabaka?