2 Samuel 19:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe muli baganda bange, mubiri gwange na musaayi gwange. Lwaki mmwe musembyeyo okuzza kabaka?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate mugambe ne Amasa nti, ‘Toli mubiri gwange era musaayi gwange? Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo, bw’otobeere muduumizi wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva ne kaakano.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mugambe Amasa nti, ‘Ggwe ow'omusaayi gwange ddala, bw'otoobe mukulu wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva kati, wakiri Katonda anzite.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mugambe Amasa nti: “Ggwe ow'omusaayi gwange ddala, bw'otoobe mukulu wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva kati, Katonda ankube anzite.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mugambe Amasa nti Toli magumba gange na mubiri gwange? Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga toliba mukulu wa ggye mu maaso gange ennaku zonna mu kifo kya Yowaabu.