2 Samuel 19:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Amasa mumugambe nti: ‘Ggwe toli wa musaayi gwange? Katonda ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa n'okuva kati si ggwe onootwala eggye mu kifo kya Yowabu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awamba emitima gy’abantu bonna aba Yuda ne baba omuntu omu, ne baweereza obubaka eri kabaka nti, “Mukomeewo, ggwe n’abaweereza bo bonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Dawudi naagonza emitima gy'abasajja bonna aba Yuda ne babeera ng'omuntu omu; n'okutuma ne batumira kabaka nga boogera nti, “Komawo ggwe n'abaddu bo bonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo kabaka n'agonza emitima gy'ab'omu Kika kya Yuda bonna, ne bassa kimu, ne bamutumira nga bagamba nti: “Komawo ggwe, n'abaweereza bo bonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akutamya emitima gy'abasajja bonna aba Yuda ng'omutima gw'omuntu omu; n'okutuma ne batumira kabaka nga boogera nti Komawo ggwe n'abaddu bo bonna.