2 Samuel 19:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo yasobola okuzza emitima gy'abantu ba Yuda, bonna nga bali kimu ng'omuntu omu. Ne batuma ewa kabaka, ne bagamba nti: “Komawo, ggwe n'abantu bo bonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’addayo n’atuuka ku Yoludaani. Abantu ba Yuda ne bajja e Girugaali okusisinkana kabaka, n’okumusomosa Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'akomawo n'atuuka ku mugga Yoludaani. Ab'ekika kya Yuda ne bagenda e Girugaali okusisinkana kabaka n'okumusomosa omugga Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'akomawo, n'atuuka ku Mugga Yorudaani. Ab'omu Kika kya Yuda ne bajja e Gilugaali, nga bagenda okusisinkana kabaka n'okumusomosa Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'akomawo n'ajja ku Yoludaani. Abayuda ne bajja e Girugaali okugenda okusisinkana ne kabaka, okusomosa kabaka Yoludaani.