2 Samuel 19:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Semeyi mutabani wa Gera Omubenyamiini ow'e Bakurimu n'ayanguwako n'akkirira ne basajja ba Yuda okusisinkana kabaka Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yagenda n’Ababenyamini lukumi, ne Ziba omuddu w’ennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano n’abaweereza be amakumi abiri. Ne banguwa okulaga ku Yoludaani kabaka gye yali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ajja n'abasajja lukumi (1,000) Ababenyamini. Ne Ziba omuddu w'omu nnyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano (15) n'abaddu be abiri (20), ne baserengeta ku Yoludaani nga kabaka abalaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ajja n'abasajja lukumi Ababenyamiini. Ne Ziba omuweereza w'omu nnyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano, n'abaweereza be amakumi abiri, ne baserengeta ku Yorudaani nga kabaka abalaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne waba naye abasajja lukumi aba Benyamini, ne Ziba omuddu w'ennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano n'abaddu be amakumi abiri nga bali naye; ne basomoka Yoludaani kabaka nga waali.