2 Samuel 19:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali n'abasajja lukumi Ababenyamiini ne Ziba omuweereza w'omu nnyumba ya Sawulo, n'abaana be kkumi na bataano n'abaweereza be amakumi abiri abaabeeranga naye. Ne bajja mangu ku Yorudani nga ne kabaka tannatuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basomosa ennyumba ya Dawudi, era ne bakola ng’okusiima kwe bwe kwali. Awo Simeeyi mutabani wa Gera n’asomoka Yoludaani, n’agwa bugazi mu maaso ga kabaka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basomoka omugga okuwerekera ab'omu nnyumba ya kabaka, n'okukola buli ky'asiima. Kabaka bwe yali ng'agenda okusomoka Yoludaani, Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunama mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne basomoka omugga okuwerekera ab'omu nnyumba ya kabaka, n'okukola buli ky'asiima. Kabaka bwe yali ng'agenda okusomoka Yorudaani, Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunama mu maaso ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eryato ne liwunguka okuwungula ab'omu nnyumba ya kabaka n'okukola nga bw'anaasiima. Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunamira kabaka ng'asomose Yoludaani.