2 Samuel 19:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu ne bamubuulira nti: “Kabaka akaaba, akungubagira mutabani we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo obuwanguzi ne bufuuka okukungubaga eri abantu bonna, kubanga baawulira nti, “Kabaka anakuwadde olwa mutabani we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwo essanyu ery'obuwanguzi ate nerifuuka kukungubaga eri abantu bonna; kubanga abantu bawulira ku lunaku olwo nti, “Kabaka akungubagira mutabani we.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo abantu bonna abaali basanyuka olw'obuwanguzi ne bakungubaga, kubanga baawulira ku olwo nti kabaka akungubagira mutabani we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olwo okuwangula ne kufuuka okukungubaga eri abantu bonna: kubanga abantu ne bawulira nga boogera ku lunaku olwo nti Kabaka anakuwalira mutabani we.