2 Samuel 19:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amugamba nti: “Mukama wange, tonzisaako musango, leka na kujjukira kibi kya muweereza wo luli mukama wange kabaka lwe yava mu Yeruzaalemu; ayi kabaka, tokikuumira ku mutima gwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nze omuweereza wo mmanyi nga nayonoona, naye leero mu nnyumba eya Yusufu nze nsoose okujja okusisinkana mukama wange kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nze omuddu wo, mmanyi nga nnayonoona. Era olwaleero kyenvudde nzija, nga nze nsoose ab'ennyumba ya Yusufu bonna okuserengeta okusisinkana mukama wange kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nze omuweereza wo, mmanyi nga nayonoona. Era olwaleero kyenvudde nzija, nga nze nsoose ab'ennyumba ya Yosefu bonna okuserengeta okusisinkana mukama wange kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuddu wo amanyi nga nayonoona: laba, kyenvudde njija leero nga nze nsoose ennyumba yonnaeya Yusufu okuserengeta okusisinkana ne mukama wange kabaka.