2 Samuel 19:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nze omuweereza wo mmanyi nti nayonoona, kyenvudde mbeera omubereberye mu nnyumba ya Yozefu okuserengeta nsisinkane mukama wange kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’ayogera nti, “Lwaki Simeeyi tattibwa olw’okukolimira omulonde wa Mukama?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu n'ayogera nti, “Simeeyi tattibwe olwa kino kubanga yakolimira oyo Mukama gwe yafukako amafuta?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu nti: “Simeeyi tasaana kuttibwa olw'ekyo? Yavuma oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu n'ayogera nti Simeeyi tattibwe olwa kino kubanga yakolimira oyo Mukama gwe yafukako amafuta?