2 Samuel 19:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abisayi mutabani wa Zeruya n'agamba nti: “Semeyi tagwanidde kufa olwa kino? Anti yavumirira omusiige w'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’amuddamu nti, “Kiki ekitugatta nze nammwe batabani ba Zeruyiya, mulyoke mufuuke abalabe bange olwa leero? Lwaki omuntu yenna attibwa mu Isirayiri olwa leero, ate nga mmanyi nga nze kabaka wa Isirayiri leero?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ayogera nti, “Kiki kyenina nammwe mmwe batabani ba Zeruyiya, mmwe okubeera leero abalabe bange? Olwaleero wanaabawo anattibwa mu Isiraeri? Kuba simanyi nga nze kabaka wa Isiraeri leero?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba nti: “Mumbeeredde ki mmwe batabani ba Zeruyiya? Mwagala kundeetako bulabe olwaleero? Mu Yisirayeli tewali anattibwa olwaleero, kubanga mmanyi ng'olwaleero nze kabaka mu Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya, mmwe okubeera leero abalabe bange? wanaabaawo anattibwa leero mu Isiraeri? kuba simanyi nga ndi kabaka wa Isiraeri leero?