2 Samuel 19:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Mefiboseti muzzukulu wa Sawulo naye yaserengeta okusisinkana kabaka; yali tanaabanga ku bigere, wadde okumwa ekirevu, n'engoye ze nga tazoozanga okuva luli kabaka lwe yadduka n'okutuusa ku lunaku lwa leero, okutuusa lwe yakomawo mu ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yatuuka okuva e Yerusaalemi n’asisinkana kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugenda nange Mefibosesi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe yatuuka e Yerusaalemi okusisinkana ne kabaka, kabaka n'amubuuza nti, “ Kiki ekyakulobera okugenda nange, Mefibosesi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mefiboseti bwe yatuuka e Yerusaalemu okusisinkana kabaka, kabaka n'amugamba nti: “Mefiboseti, lwaki tewagenda nange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yatuuka e Yerusaalemi okusisinkana ne kabaka, kabaka n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okugenda nange, Mefibosesi?