2 Samuel 19:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yava e Yeruzaalemu okugenda okusisinkana kabaka, kabaka n'amubuuza nti: “Mefiboseti, lwaki tewajja nange?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addamu nti, “Mukama wange, kabaka, okimanyi nga omuweereza wo mulema. Nagamba omuddu wange nti, ‘Ntekerateekera endogoyi, njebagale, ŋŋende ne kabaka,’ naye n’ambuzaabuza, n’abulawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addamu nti, “Mukama wange, kabaka, nga nze omudduwo bwendi omulema n'agamba omuddu wange ateeke amatandiiko ku ndogoyi yange ngyebagale ŋŋende naawe; naye naandyamu olukwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addamu nti: “Mukama wange, ayi kabaka, nga nze omuweereza wo bwe ndi omulema, nagamba nti: ‘Nnaateeka amatandiiko ku ndogoyi yange ngyebagale ŋŋende ne kabaka.’ Kyokka omuweereza wange n'annimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, omuddu wange yannimba: kubanga omuddu wo yayogera nti Naateeka amatandiiko ku ndogoyi ngyebagale ŋŋende ne kabaka; ku banga omuddu wo mulema.