2 Samuel 19:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amwanukula n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, omuweereza wo engeri gyali omulema, nali ŋŋambye omulenzi andabirira nti: ‘Endogoyi yange gintandiikire, neebagale, ŋŋende ne kabaka,’ naye omuweereza n'annimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yajja eri mukama wange kabaka n’ayogera ku muddu wo ebya kalebule. Naye mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda, noolwekyo kola nga bw’osiima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nampayiriza gyoli, nze omuddu wo, mukama wange kabaka. Naye mukama wange, kabaka aliŋŋaanga malayika wa Katonda. Kale kola ekyo ky'olaba nga kirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era yampaayiriza gy'oli, nze omuddu wo, ayi mukama wange kabaka. Naye mukama wange kabaka, ali nga malayika wa Katonda. Kale kola ekyo ky'olaba nga kirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yawaayiriza omuddu wo eri mukama wange kabaka; naye mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda: kale kola ekiri mu maaso go ekirungi.