2 Samuel 19:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'awaayiriza omuweereza wo eri mukama wange kabaka. Naye ggwe, mukama wange kabaka, oli nga malayika wa Katonda; kola nga bw'onooba olabye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’ennyumba ya jjajjange bonna baali basaanira kufa bufi mu maaso ga mukama wange kabaka, naye nange n’omala gansaasira n’onzikiriza okuba ku abo abatuula ku mmeeza yo. Kale kiki kye sifunye okuva eri kabaka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu nnyumba ya kitange baali ba kuttirwa mu maaso go, mukama wange kabaka. Naye n'ontuuza nze omuweereza wo, mu abo abaliira ku mmeeza yo. Kale nsinziira ku ki nate okusaba ekisingawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu nnyumba ya kitange baali ba kuttirwa mu maaso go, mukama wange kabaka. Naye n'ontuuza nze omuweereza wo, mu abo abaliira ku lujjuliro lwo. Kale nnina nsonga ki kwe nsinziira okukusaba ekisingawo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennyumba yonna eya kitange baali bafu bufu mu maaso ga mukama wange kabaka: naye n'otuuza omuddu wo mu bo abalya ku mmeeza yo ggwe. Kale nnina nsonga ki neeyongere okukaabira kabaka?