2 Samuel 19:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ennyumba ya jjajjange yali egwanira kibonerezo kya kuttibwa ewa mukama wange kabaka; naye wabalira omuweereza wo mu abo b'olya nabo. Nnina ki kwe nnaayima okuwanjaga ewa kabaka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’amugamba nti, “Lwaki weeyongera okweyogerako? Ndagidde kaakano, ggwe ne Ziba mugabane ettaka eryo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kabaka n'amugamba nti, “Ne bw'otooyongere kwogera bingi bwe bityo, nze ŋŋambye nti ettaka muligabane ggwe ne Ziba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'amugamba nti: “Ne bw'otooyongere kwogera bingi bwe bityo, nze ŋŋambye nti ettaka muligabane ggwe ne Ziba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'amugamba nti Ekikwogeza ki nate ku bigambo byo? Nze njogera nti Ggwe ne Ziba mugabane ensi.