2 Samuel 19:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo okuwangula kwafuuka kukungubaga kwa mu ggye wonna, kubanga ku olwo abatabaazi bonna baawulira nga bagamba nti: “Kabaka munakuwavu olwa mutabani we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ne bebbirira ne bayingira mu kibuga, ng’abantu abakwatiddwa ensonyi bwe bafaanana nga badduse mu lutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne badda mu kibuga ku lunaku olwo nga basooba, ng'abantu abakwatiddwa ensonyi bwe basooba nga badduse mu lutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo abantu ne badda mu kibuga nga bebbirira bwebbirizi, ng'abantu abebbirira olw'ensonyi nga badduse okuva mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ne badda mu kibuga ku lunaku olwo nga basooba, ng'abantu abakwaatiddwa ensonyi bwe basooba nga badduse mu lutalo.