2 Samuel 19:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'amugamba nti: “Lwaki olondobereza nnyo? Ndagidde ggwe ne Ziba mugabane ennimiro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mefibosesi n’agamba kabaka nti, “Atwale lyonna, kubanga mukama wange kabaka akomyewo mirembe mu bwakabaka bwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mefibosesi n'agamba kabaka nti, “Ziba abitwale byonna kasita ggwe mukama wange kabaka okomyewo mirembe mu lubiri lwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mefiboseti n'agamba kabaka nti: “Ye k'abitwale byonna, kasita ggwe mukama wange kabaka okomyewo mirembe mu lubiri lwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mefibosesi n'agamba kabaka nti Weewaawo, atwale byonna, kubanga mukama wange kabaka atuuse mirembe mu nnyumba ye ye.