2 Samuel 19:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Baruzillayi Omugileyaadi n'aserengeta ng'ava e Rogelimu okusomosa kabaka Yorudani n'okumusiibula okuva ku Yorudani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, ng’awezezza emyaka kinaana, era yali agabiridde kabaka ebyokulya we yabeerera e Makanayimu kubanga yali musajja mugagga nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, nga awezzezza emyaka kinaana (80), yali mugagga nnyo era ye yawanga kabaka eby'okulya ebbanga lyonna lyeyamala e Makanayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baruzillayi oyo yali musajja mukadde nnyo, ng'aweza emyaka kinaana. Yali mugagga nnyo era ye yawanga kabaka ebyokulya ebbanga lyonna kabaka lye yamala e Mahanayimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, nga yaakamaze emyaka kinaana: era yali amuliisizza kabaka bwe yali atuula e Makanayimu; kubanga yali musajja mukulu nnyo.