2 Samuel 19:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Baruzillayi nti: “Jjangu tusomoke wamu, nzija kukulabiriranga ewange mu Yeruzaalemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Baluzirayi n’addamu kabaka nti, “Nnina ennaku meka okuba omulamu, ndyoke ŋŋende ne kabaka e Yerusaalemi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baluzirayi n'addamu kabaka nti, “Nsigazaayo emyaka emmeka ndyoke ŋŋende naawe e Yerusaalemi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baruzillayi n'agamba kabaka nti: “Emyaka egy'obulamu nkyasigazizzaayo emeka, ndyoke ŋŋende naawe kabaka e Yerusaalemu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baluzirayi n'agamba kabaka nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange zenkana wa, nnyambuke ne kabaka ŋŋende e Yerusaalemi?