2 Samuel 19:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baruzillayi n'agamba kabaka nti: “Ennaku z'emyaka gy'obulamu bwange nsigazza mmeka kwe mba nsinziira okwambuka ne kabaka e Yeruzaalemu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpezezza emyaka kinaana, olowooza nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi? Olowooza nga omuddu wo akyayinza okutegeera ky’alya ne ky’anywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g’abasajja abayimba n’abakyala abayimbi? Lwaki nzitoowerera mukama wange kabaka?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakati mpezeza emyaka kinaana (80). Nkyayinza okwawula ebirungi n'ebibi? Oba okuwomerwa byendya oba bye nnywa? Wadde okuwuliriza amaloboozi g'abasajja n'abakazi abayimba? Lwaki omuddu wo azitoowerera mukama wange kabaka?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano mpeza emyaka kinaana. Nnyinza okwawula ekisanyusa n'ekitasanyusa? Nze omuweereza wo, nnyinza okuwoomerwa bye ndya oba bye nnywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g'abasajja n'abakazi abayimba? Kale mukama wange kabaka, lwaki nze omuweereza wo, nnyongera ku buzito bw'olina?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leero naakamaze emyaka kinaana: nnyinza okwawulamu ebirungi n'ebibi? omuddu we, awoomerwa bye ndya oba bye nnywa? nkyayinza okuwulira eddoboozi ly'abasajja abayimba n'abakazi abayimba? kale omuddu wo yandibeeredde ki nate azitoowerera mukama wange kabaka?