2 Samuel 19:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati mpeza emyaka kinaana; nkyamanyi ekirungi n'ekibi? Yadde omuweereza wo nkyawoomerwa byakulya oba byakunywa? Nkyaddayo okuwulira eddoboozi ly'abayimbi abasajja oba abakazi? Lwaki omuweereza wo yandifuukidde mukama wange kabaka omugugu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuweereza wo anasomosa busomosa kabaka, Yoludaani, naye nga siraba kiki enkimpeesa empeera eyenkana awo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu yayagala kusomoka busomosi Yoludaani okuwerekera kabaka; kale lwaki mukama wange kabaka ampa empeera eyenkanidde awo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze omuweereza wo, mpozzi ka nkuwerekereko katono, nkusomose omugga Yorudaani. Naye ayi kabaka, ompeera ki empeera eyenkanidde awo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu wo ayagala okusomoka Yoludaani obusomosi wamu ne kabaka era olw'ekyo kabaka yandimpeeredde ki empeera eyenkanidde awo?