2 Samuel 19:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza leka awerekereko kabaka katono okuva ku Yorudani. Siraba lwaki kabaka yandinsiimye na bino byonna!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkwegayiridde, kkiriza omuddu wo addeyo, nfiire mu kibuga kyange okumpi n’ebiggya bya kitange ne mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuyo. Leka asomoke ne mukama wange kabaka, onoomukolera byonna nga bw’onoosiima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayiridde kkiriza omuddu wo nzireyo nfiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange n'eya mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuno, ye aba agenda naawe, mukama wange kabaka; era alimukolera kyonna ky'olisiima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwegayiridde nzikiriza nze omuweereza wo, nzireyo, nfiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange n'eya mmange. Naye omuweereza wo Kimamu wuuno. Ono ye aba agenda naawe mukama wange kabaka, omukolere kyonna ky'osiima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwegayiridde, omuddu wo addeyo nate afiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange ne mmange. Naye, laba, omuddu wo Kimamu; oyo ye aba asomoka ne mukama wange kabaka; era omukolanga ky'olisiima.