2 Samuel 19:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkwegayiridde, leka omuweereza wo addeyo afiire mu kibuga okumpi n'ebiggya bya kitange ne nnyabo. Wano waliwo omuweereza wo Kimuwamu; oyo y'aba agenda naawe, mukama wange; mukolere kyonna ky'olaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’ayogera nti, “Kale Kimamu anaasomoka nange, era ndimukolera nga bw’olisiima; ne kyonna ky’onooyagala n’akikukolera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'addamu nti, “Kimamu ajja kugenda nange, era ndimukola kyonna ky'osiima. Era naawe kyonna ky'oyagala nkukolere, nja kukikukolera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'addamu nti: “Kimamu ajja kugenda nange, era ndimukolera kyonna ky'osiima. Era naawe kyonna ky'oyagala nkukolere, nja kukikukolera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'addamu nti Kimamu anaasomoka nange, era ndimukola ky'olisiima: era kyonna ky'olyagala okunteekako, ndikukikolera.