2 Samuel 19:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba nti: “Kimuwamu asomoke nange, nange nzija kumukolera kyonna ky'osiimye; na buli kyonna ky'ononsaba nzija kukikukolera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna ne basomoka Yoludaani, kabaka n’asomoka nabo. Kabaka n’anywegera Baluzirayi n’amusabira omukisa, n’addayo ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne basomoka Yoludaani awamu ne kabaka; kabaka n'anywegera Baluzirayi n'amusabira omukisa; Baluzirayi n'addayo ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ne basomoka omugga Yorudaani, ne kabaka n'asomoka. Kabaka n'anywegera Baruzillayi, n'amusabira omukisa. Baruzillayi n'addayo mu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne basomoka Yoludaani kabaka n'asomoka: kabaka n'anywegera Baluzirayi n'amusabira omukisa; n'addayo mu kifo kye ye.