2 Samuel 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo abatabaazi ekibuga baakiyingira basolima, ng'abantu bwe basolima ng'ensonyi zibakutte nga badduse mu lutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’abikka amaaso ge n’akaaba n’eddoboozi ddene nti, “Mutabani wange Abusaalomu! Woowe Abusaalomu mutabani wange!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'abikka ku maaso ge, kabaka n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Woowe! mwana wange Abusaalomu, woowe Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka ne yeebikka ku maaso n'atema omulanga ng'agamba nti: “Woowe, mwana wange Abusaalomu! Woowe, Abusaalomu, mwana wange, mutabani wange!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'abikka ku maaso ge, kabaka n'akaaba n'eddoboozi ddene nti mwana wange Abusaalomu, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!