2 Samuel 19:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne basomoka Yorudani. Kabaka bwe yamala okusomoka, n'anywegera Baruzillayi, n'amwagaliza omukisa; Baruzillayi n'addayo ewaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’agenda e Girugaali ne Kimamu n’agenda naye; abantu bonna aba Yuda, n’ekimu kyakubiri ku bantu ba Isirayiri ne bawerekera kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agenda e Girugaali, ne Kimamu n'agenda naye; ekika kyonna ekya Yuda n'ekitundu ky'abantu ba Isiraeri ne bagenda naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka bwe yasomoka, n'agenda e Gilugaali, ng'awerekerwako abantu bonna ab'omu Kika kya Yuda n'ekitundu eky'Abayisirayeli. Era ne Kimamu yali naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'asomoka n'agenda e Girugaali, Kimamu n'asomoka naye: abantu bonna aba Yuda ne basomosa kabaka era n'ekitundu ky'abantu ba Isiraeri.