2 Samuel 19:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'asomoka n'atuuka mu Gilugali, nga ne Kimuwamu ali naye. Amagye gonna aga Yuda n'ekyokubiri eky'amagye ga Yisirayeli baali basomosezza kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lwe bbanga ttono, abasajja bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka, ne bagamba kabaka nti, “Lwaki baganda baffe, abasajja aba Yuda, babba kabaka, ne bamutwala ye n’ennyumba ye, ne bamusomosa Yoludaani n’abasajja be?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna aba Isiraeri ne bagenda eri kabaka Dawudi ne bamubuuza nti, “Lwaki baganda baffe ab'ekika kya Yuda bakusomosezza Yoludaani, ggwe n'ab'omu nnyumba yo n'abasajja bo mu nkukuttu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna ne bajja eri kabaka ne bamugamba nti: “Baganda baffe ab'omu Kika kya Yuda, lwaki baakututte mu bubba, ne bakusomosa Yorudaani, ggwe n'ab'omu nnyumba yo, ne basajja bo bonna ayi kabaka Dawudi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, laba, abasajja ba Isiraeri bonna ne bajja eri kabaka ne bagamba kabaka nti Baganda baffe abasajja ba Yuda bakubbidde ki, ne basomosa Yoludaani kabaka n'ab'omu nnyumba ye n'abasajja ba Dawudi bonna wamu naye?