2 Samuel 19:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja bonna Abayisirayeli ne bajja ewa kabaka ne bamugamba nti: “Baganda baffe basajja ba Yuda lwaki babba kabaka, ne bamusomosa Yorudani, n'ennyumba ye yonna n'abasajja bonna aba Dawudi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna aba Yuda ne baddamu abasajja ba Isirayiri nti, “Ekyo twakikola kubanga tuli ba musaayi gumu naye. Kiki ekibatabudde mu nsonga eyo? Tulina bye tulidde ku bya kabaka? Oba mulowooza nga tulina ebirabo bye tugabanye?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ab'ekika kya Yuda bonna ne baddamu abantu ba Isiraeri nti, “Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda; lwaki ekyo kibasunguwaza? Tulina ekintu kyonna ekya kabaka kye tulidde oba alina ekirabo kyonna kyatuwadde?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'omu Kika kya Yuda bonna ne baddamu Abayisirayeli nti: “Kubanga kabaka wa kika kyaffe. Kale lwaki ekyo kibasunguwaza? Tulina ekintu n'ekimu ekya kabaka kye tulidde? Oba waliwo ekirabo ky'atuwadde?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ba Yuda bonna ne baddamu abasajja ba Isiraeri nti Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda: kale musunguwalira ki olw'ekigambo ekyo? twali tulidde n'akatono ekintu kyonna ekya kabaka? oba atuwadde ekirabo kyonna?