2 Samuel 19:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ba Yuda bonna ne baanukula abantu ba Yisirayeli nti: “Kubanga kabaka wa luganda naffe? Ku bya kabaka tulinako n'ekimu kye tuliddeko, oba kye twetwaliddeko?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Isirayiri ne baddamu abasajja ba Yuda nti, “Okusooka byonna, obwakabaka tubulinamu emigabo kkumi. N’ekyokubiri, Dawudi wa ku luganda lwaffe n’okusinga mmwe. Kale lwaki mwatunyooma? Si ffe twasooka okwogera ku ky’okukomyawo kabaka waffe?” Naye ebigambo eby’abasajja ba Yuda ne biba bisongovu nnyo n’okusinga ebigambo eby’abasajja ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri nabo ne baddamu ab'omu kika kya Yuda nti, “Obwannannyini bwe tulina ku kabaka bwa mirundi kkumi (10). Era Dawudi waffe, n'okusinga bw'ali owammwe. Kale lwaki mwatunyoomye? Si ffe twasooka okuleeta ekirowoozo eky'okukomyawo kabaka waffe?” Naye ebigambo ebya b'omu kika kya Yuda byali bikambwe okusinga eby'Abaisiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli nabo ne baddamu ab'omu Kika kya Yuda nti: “Obwannannyini bwe tulina ku kabaka bwa mirundi kkumi. Era Dawudi waffe, n'okusinga bw'ali owammwe. Kale lwaki mwatunyoomye? Si ffe twasooka okuleeta ekirowoozo eky'okukomyawo kabaka waffe?” Naye ab'omu Kika kya Yuda bye baayogera, ne bisinga amaanyi eby'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ba Isiraeri ne baddamu abasajja ba Yuda ne boogera nti Ebitundu kkumi ebya kabaka byaffe, era ffe tulina bingi mu Dawudi okukira mmwe: kale mwatunyoomera ki obutasooka kubuuza ffe nga muteesa naffe okukomyawo kabaka waffe? Ebigambo eby'abasajja ba Yuda ne bisinga obukambwe ebigambo eby'abasajja ba Isiraeri.