2 Samuel 19:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka yali yeebisse ku maaso, ng'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Mwana wange Abusalomu, mwana wange, mwana wange Abusalomu!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu n’alaga mu nnyumba kabaka gye yali n’amugamba nti, “Leero oswazizza abaweereza bo, abawonyezza obulamu bwo, n’obulamu bwa batabani bo ne bawala bo, n’obulamu bwa bakyala bo n’abazaana bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'ayingira mu nnyumba eri kabaka, n'amugamba nti, “Olwaleero oswazizza abaddu bo bonna n'obamalamu amaanyi, abaawonyezza leero obulamu bwo n'obulamu bwa batabani bo ne bawala bo n'obulamu bwa bakazi bo n'obulamu bw'abazaana bo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu n'ayingira mu lubiri lwa kabaka, n'agamba kabaka nti: “Olwaleero abaweereza bo abawonyezza obulamu bwo n'obwa batabani bo, n'obwa bawala bo, n'obwa bakazi bo n'obw'abazaana bo, obamazeemu amaanyi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'ayingira mu nnyumba eri kabaka, n'ayogera nti Oswazizza leero amaaso g'abaddu bo bonna, abaawonyezza leero obulamu bwo n'obulamu bwa batabani bo ne bawala bo n'obulamu bwa bakazi bo n'obulamu bw'abazaana bo;