2 Samuel 19:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'ayingira ewa kabaka mu nnyumba n'agamba nti: “Oswazizza amaaso g'abaweereza bo bonna abawonyezza obulamu bwo, obwa batabani bo, bawala bo, obulamu bwa bakazi bo n'abasebeyi bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyagala abakukyawa ate n’okyawa abakwagala. Leero okikakasizza ng’abaduumizi n’abaweereza si kintu gy’oli. Era kindabikira nga singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe ffenna nga tufudde leero, wandisanyuse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga oyagala abakukyawa, n'okyawa abo abakwagala. Olwaleero olagidde ddala lwatu nti abakulu mu ggye lyo n'abaddu bo, tobalabamu mugaso. Olwaleero ntegedde nti singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe fenna nga tufudde, wandisanyuse nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga oyagala abakukyawa, n'okyawa abo abakwagala. Olwaleero olagidde ddala lwatu nti abakulu mu ggye lyo n'abaweereza bo, tobalabamu mugaso. Olwaleero ntegedde nti singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe ffenna nga tufudde, wandisanyuse nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga oyagala abakukyawa n'okyawa abakwagala. Kubanga oyatudde leero ng'abakulu n'abaddu si kintu gy'oli: kubanga leero ntegedde, singa Abusaalomu abadde mulamu naffe fenna nga tufudde leero, kale wandikisiimye nnyo.