2 Samuel 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakukyawa b'oyagala n'okyawa abakwagala. Olwa leero weeyolese ng'abagabe bo tobafaako n'abakungu bo; era kati ntegedde nti Abusalomu aba kusigalawo ffe ffenna ne tufa, ekyo kye kyandikusanyudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno golokoka ogende ogumye emyoyo gy’abaweereza bo, kubanga nkulayirira eri Mukama, nga bwe wataabeewo musajja n’omu anaasigala naawe ekiro kya leero. Ekyo kye kirisingako obubi okusinga obubi bwonna bwe wali olabye okuva mu buto bwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno situka ofulume oyogere bulungi n'abaddu bo; kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, abasajja bonna bajja kukwabuulira ekiro kino; ekyo kijja kukuviiramu akabi akasinga ke wali olabye okuva mu buto bwo n'okutuusa kati.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno situka ogende oyogere bulungi n'abaweereza bo, kubanga ndayira Mukama nga bw'otoogendeyo, tewaabe n'omu asigala naawe ekiro kino. Ekyo kijja kukuviiramu akabi akasinga ke wali olabye okuva mu buvubuka bwo n'okutuusa kati.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno golokoka ofulume oyogere n'abaddu bo bulungi: kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, tewaabeere naawe ekiro kino omusajja n'omu: n'ekyo kirisinga obubi ennaku zonna ze waakalaba okuva mu buto bwo ne kaakano.