2 Samuel 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno situka ogumye abasajja bo. Ndayidde Omukama, bw'otoogende, we bunaazibira wanaaba tewakyali n'omu asigadde naawe. Ate ekyo kijja kukubeerera kibi okusinga byonna ebyali bikugwiridde okuva mu buvubuka bwo n'okutuusa kati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agolokoka, n’addira entebe ye n’agiteeka mu mulyango ogwa wankaaki, bonna ne bajja gy’ali. Mu kiseera ekyo Abayisirayiri baali baddukidde buli muntu ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'asituka n'atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu bonna nti, “Laba, kabaka atudde mu mulyango;” abantu bonna ne bajja ne baakuŋŋaanira waali. Mu kiseera ekyo Abaisiraeri baali badduse nga buli muntu azeeyo mu nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'asituka n'agenda atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu nti: “Kabaka wuuli atudde mu mulyango.” Abantu bonna ne bajja awali kabaka. Mu kiseera ekyo Abayisirayeli baali badduse nga buli omu azzeeyo ewuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agolokoka n'atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu bonna nti Laba, kabaka atudde mu mulyango: abantu bonna ne bakiikira kabaka. Awo Isiraeri yali addukidde buli muntu mu weema ye.