2 Samuel 19:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'asituka, n'atuula ku wankaaki. Abantu bonna ne bababuulira nti: “Kabaka atudde ku wankaaki.” Bonna ne bajja mu maaso ga kabaka. Abayisirayeli baali baddukidde buli omu mu weema ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri baali bakaayana nga boogera nti, “Kabaka yatuwonya mu mukono gw’abalabe baffe, n’atuwonya ne mu mukono gw’Abafirisuuti, kaakano adduse Abusaalomu n’ava mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne bakayana bokka na bokka mu bika bya Isiraeri byonna nga boogera nti, “Kabaka Dawudi ye yatuwonya mu mukono gw'abalabe baffe, n'atulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; naye yadduka Abusaalomu nnava mu nsi ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu bonna ne bawakana mu Bika bya Yisirayeli byonna nga bagamba nti: “Kabaka yatuwonya abalabe baffe, n'atuwonya Abafilistiya. Kale kaakano adduse Abusaalomu n'ava mu nsi ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne baba nga bawakana mu bika bya Isiraeri byonna nga boogera nti Kabaka ye yatuwonya mu mukono gw'abalabe baffe, n'atulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; kale kaakano adduse Abusaalomu okuva mu nsi.