2 Samuel 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Dawudi ne yeebuuza ku Mukama, n'agamba nti: “Nnyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Omukama n'amugamba nti: “Yambuka.” Dawudi n'abuuza nti: “Nnyambuke wa?” N'amwanukula nti: “Mu Keburoni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Nyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Mukama n’amuddamu nti, “Yambuka.” N’abuuza nate nti, “Ŋŋende mu kiruwa?” Mukama n’amuddamu nti, “E Kebbulooni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti, “Nnyambuke mu kyonna ku bibuga bya Yuda?” Mukama n'amugamba nti, “Yambuka.” Dawudi n'abuuza nti, “Naayambuka wa?” Mukama n'amugamba nti, “Yambuka e Kebbulooni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Dawudi n'abuuza Mukama nti: “Ŋŋende mbeere mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Mukama n'addamu nti: “Genda.” Dawudi n'abuuza nti: “Mu kibuga ki?” Mukama n'addamu nti: “Mu Heburooni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Nnyambuke mu kyonna ku bibuga bya Yuda? Mukama n'amugamba nti Yambuka. Dawudi n'ayogera nti Naayambuka wa? N'ayogera nti e Kebbulooni.