2 Samuel 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisi-Boseti, mutabani wa Sawulo yali wa myaka amakumi ana we yatandikira okufuga Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri; ennyumba ya Yuda yokka ye yali egoberera Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isubosesi, mutabani wa Sawulo yali wa myaka amakumi ana we yatandika okufuga Isirayiri, era n’afugira emyaka ebiri. Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isubosesi mutabani wa Sawulo yali awezezza emyaka ana (40) bwe yatanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka ebiri (2). Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisiboseti mutabani wa Sawulo yali aweza emyaka amakumi ana we yafuulirwa kabaka wa Yisirayeli, era yafugira emyaka ebiri. Naye ab'Ekika kya Yuda ne baagoberera Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Isubosesi mutabani wa Sawulo yali yaakamaze emyaka ana bwe yatanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka ebiri.) Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawvdi.