2 Samuel 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga Dawudi lye yamala mu Keburoni ng'afuga ennyumba ya Yuda, gyali emyaka musanvu n'emyezi mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbanga Dawudi lye yabeerera kabaka mu Kebbulooni ng’afuga ennyumba ya Yuda lyali emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebiro Dawudi bye yamala nga ye kabaka w'ennyumba ya Yuda mu Kebbulooni byali emyaka musanvu (7) n'emyezi mukaaga (6).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'afugira mu Heburooni ab'Ekika kya Yuda okumala emyaka musanvu n'ekitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebiro Dawudi bye yamala nga ye kabaka w'ennyumba ya Yuda mu Kebbulooni byali myaka musanvu ko emyezi mukaaga.