2 Samuel 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yowabu, mutabani wa Zeruya n'abasajja ba Dawudi ne bajja okubasisinkana ku kidiba ky'e Gibewoni. Eggye erimu ne libeera ku ludda olumu olw'ekidiba, n'eddala ku ludda olulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abasajja ba Dawudi ne bagenda okubasisinkana ku kidiba eky’e Gibyoni. Ekibinja ekimu ne kituula ku luuyi olumu olw’ekidiba, n’ekirala ne kituula ku luuyi olulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaddu ba Dawudi ne bafuluma ne basisinkana nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ebibinja byombi ne baatula, ekimu ku ludda olumu olw'ekidiba, n'ekirala ku ludda olulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaweereza ba Dawudi abalala, ne babasisinkana ku kidiba ky'e Gibiyoni. Ebibinja byombi ne batuula, ekimu ku ludda olumu olw'ekidiba, n'ekirala ku ludda olulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaddu ba Dawudi ne bafuluma ne basisinkana nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ne batuula, bano emitala w'eno w'ekidiba, na bali emitala w'eri w'ekidiba.