2 Samuel 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abuneri n'agamba Yowabu nti: “Leka abavubuka balwanagane mu maaso gaffe.” Yowabu n'ayanukula nti: “Basituke.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abuneeri n’agamba Yowaabu nti, “Abamu ku basajja bagolokoke beegezeemu mu maaso gaffe.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Kale bagolokoke.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abuneeri n'agamba Yowaabu nti, “Abavubuka okuva ku buli ludda, bajje balwanire mu maaso gaffe.” Yowaabu n'addamu nti, “Kale bajje.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abuneeri n'agamba Yowaabu nti: “Ka abavubuka bajje okuva ku buli ludda, balwanire mu maaso gaffe.” Yowaabu n'addamu nti: “Kale bajje.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abuneeri n'agamba Yowaabu nti Nkwegayiridde, abalenzi bagolokoke bazannyire mu maaso gaffe. Yowaabu n'ayogera nti Bagolokoke.