2 Samuel 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basituka, ne bajja, nga bawera kkumi na babiri okuva mu Benyamiini ku ludda lwa Yisi-Boseti mutabani wa Sawulo na kkumi na babiri okuva mu basajja ba Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagolokoka, kkumi na babiri ne babalibwa okuva ku ludda lwa Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo, n’ababala kkumi na babiri okuva ku ludda lwa Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne beesowolayo abavubuka kkumi na babiri (12), aba Isubosesi mutabani wa Sawulo ab'Ekika kya Benyamini, n'abavubuka kkumi na babiri (12) aba Dawudi (12).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne beesowolayo abavubuka kkumi na babiri aba Yisiboseti mutabani wa Sawulo ab'Ekika kya Benyamiini, n'abavubuka kkumi na babiri aba Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bagolokoka ne basomoka nga babaliddwa; aba Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo kkumi na babiri, ne ku baddu ba Dawudi kkumi na babiri.