2 Samuel 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu n'akwata omutwe gwa munne n'afumita ekitala mu lubiriizi lwa munne, ne bagwa maliri wansi; ekifo ekyo kwe kukituuma Kelukati-Kazzurimu; kiri mu Gibewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu n’akwatagana ne gwe yali atunuuliganye naye, ne banyolegana emitwe, ne bafumitigana amafumu, ne bagwira wamu. Era ekifo ekyo mu Gibyoni ne kituumibwa Kerukasu-Kazzulimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli omu n'akwata ow'oku ludda olulala ku mutwe, n'amufumita ekitala mu mbiriizi, ne bagwira wamu. Awo ekifo ekyo ekiri mu Gibyoni kyebaava bakiyita Kerukasu-kazzulimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli omu n'akwata ow'oku ludda olulala ku mutwe, n'amufumita ekitala mu mbiriizi, ne bagwira wamu. Awo ekifo ekyo ekiri mu Gibiyoni kyebaava bakiyita, “Ennimiro y'Ebitala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakwata buli muntu munne omutwe, ne bafumita buli muntu olubiriizi lwa munne n'ekitala; awo ne bagwira wamu: ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Kerukasu-kazzulimu, ekiri mu Gibyoni.