2 Samuel 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abuneri n'addamu okugamba Asaweli nti: “Kyama, ndeka. Lwaki nandikufumise n'ogwa ku ttaka? Nnaatunula ntya Yowabu muganda wo mu maaso?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abuneeri n’addamu okumulabula ng’agamba nti, “Bw’oleka okungoba! Lwaki ondeetera okukutta? Muganda wo Yowaabu nnaamudda wa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abuneeri n'addamu nate okugamba Asakeri nti, “Lekera awo okumpondera! Lwaki ompaliriza okukutta? Nnaalabika ntya mu maaso ga muganda wo Yowaabu nga nkusse?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abuneeri n'addamu nate okugamba Asayeeli nti: “Lekera awo okumpondera! Lwaki ompaliriza okukutta? Nnaalabika ntya mu maaso ga muganda wo Yowaabu nga nkusse?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abuneeri n'agamba Asakeri nate nti Kyama obutangoberera: kiki ekinaaba kikunkubya wansi? awo ndimuyimusiza ntya amaaso gange Yowaabu muganda wo?