2 Samuel 2:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Asaweli n'agaana okukyama. Abuneri n'amufumita omuwunda gw'effumu lye mu lubuto, effumu ne limuyitamu okutuuka mu mugongo n'agwa awo, n'afiirawo. Bonna bwe baatuukanga mu kifo Asaweli we yali agudde n'afa, nga bayimirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Asakeri ne yeeyongera bweyongezi okumugoba; Abuneeri kwe kumufumita mu lubuto n’omuwunda gw’effumu, effumu ne liggukira mu mugongo, n’agwa wansi era n’afiirawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Asakeri era n'ayongera okumuwondera. Awo Abuneeri n'afumita Asakeri omuwunda gw'effumu lye, ne limuyita mu lubuto ne ligguka emabega. Asakeri n'agwa n'afiirawo amangwago. Awo buli muntu eyatuukanga mu kifo ekyo Asakeeri mwe yafiira ng'ayimirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Asayeeli era n'ayongera okumuwondera. Awo Abuneeri n'afumita Asayeeli omuwunda gw'effumu lye, ne limuyita mu lubuto ne ligguka emabega. Asayeeli n'agwa n'afiirawo amangwago. Awo buli muntu eyatuukanga mu kifo ekyo Asayeeli mwe yafiira ng'ayimirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'agaana okukyama: Abuneeri kyeyava amufumita olubuto n'omuwunda gw'effumu, effumu ne liyitamu ne ligukkira ennyuma we; n'agwira awo n'afiira mu kifo omwo: awo olwatuuka abo bonna abaatuuka mu kifo Asakeri we yagwira n'afa ne bayimirira.