2 Samuel 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo Yowabu ne Abisayi baasigala bawondera Abuneri; enjuba yali egwa, ne bajja ne batuuka ku lusozi Amma, olutunuulidde Giya, mu kkubo eridda mu ddungu ly'e Gibewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoba Abuneeri. Enjuba bwe yali eneetera okugwa, ne batuuka ku lusozi Amma, oluliraanye Giya mu kkubo ery’eddungu ery’e Gibyoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Abuneeri; awo enjuba n'egwa nga batuuse ku lusozi olw'e Amma, oluli mu maaso ga Giya ku kkubo erigenda mu ddungu lye Gibyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Abuneeri. Awo enjuba ng'egolooba, ne batuuka ku lusozi lw'e Amma oluli mu maaso ga Giya, ku luguudo olugenda mu ddungu ly'e Gibiyoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoberera Abuneeri: awo enjuba n'egwa nga batuuse ku lusozi Amma, oluli mu maaso g'e Giya mu kkubo ery'eddungu ery'e Gibyoni.