2 Samuel 2:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababenyamiini ne bakuŋŋaanira ku Abuneri, ne beekolamu ebibinja, ne balindira ku ntikko y'akasozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja b’e Benyamini ne beekola ekibinja kimu, ne badda ku luuyi lwa Abuneeri, ne bayimirira ku lusozi olumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Benyamini ne begatta ku Abuneeri, ne bafuuka ekibiina kimu, ne bayimirira ku ntikko y'olusozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ababenyamiini ne bakuŋŋaanira awali Abuneeri, ne bongera okwenyweza nga bali wamu ku ntikko y'olusozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira ku Abuneeri, ne bafuuka ekibiina kimu, ne bayimirira ku ntikko y'olusozi.