2 Samuel 2:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abuneri n'alaamiriza Yowabu n'agamba nti: “Ekitala kinaakolanga gwa kuwemmenta? Ggwe tolaba nga kino mu luvannyuma kinaavaamu nnyiike? Onookoma ddi ku bantu balekere awo okuwondera baganda baabwe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abuneeri n’akoowoola Yowaabu n’ayogera nti, “Ekitala kirirya ennaku zonna? Tolaba nti enkomerero ya byonna buliba bukyayi bwereere? Kale kiki ekikulobera okulagira abantu bo balekeraawo okucocca baganda baabwe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'amugamba nti, “Tunaalwana kutuusa ddi? Tomanyi nga ku nkomerero tewali kirungi kinaavaamu, okuggyako obulumi obwereere? Tuli baganda bammwe, oliragira ddi basajja bo okukoma okutuwondera?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'amugamba nti: “Tunaalwana kutuusa ddi? Tomanyi nga ku nkomerero tewali kirungi kinaavaamu, okuggyako obulumi obwereere? Tuli bannansi bannammwe, oliragira ddi basajja bo okukoma okutuwondera?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'ayogera nti Ekitala kirirya ennaku zonna? tomanyi nga walibaawo obubalagaze ku nkomerero ey'oluvannyuma? kale olituusa wa obutalagira bantu kuddayo obutagoberera baganda baabwe?