2 Samuel 2:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, toba kwogera, abantu tebandireseeyo kuwondera baganda baabwe okutuukira ddala ku makya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’addamu nti, “Katonda nga bw’ali omulamu, ne bwe watandikyogedde, obudde bwe bwandikeeredde ng’abasajja balekeddaawo okugoba baganda baabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'addamu nti, “Katonda nga bw'ali omulamu, singa towanjazze, basajja bange babadde bakukuwondera okutuusa enkya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'addamu nti: “Mu mazima ga Katonda omulamu, singa towanjaze, basajja bange babadde bakyakuwondera okutuusa enkeera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu n'ayogera nti Katonda nga bw'ali omulamu, singa toyogedde, kale enkya abantu tebandiremye kugenda, so tebandigoberedde buli muntu muganda we.