2 Samuel 2:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yowabu n'afuuwa eŋŋombe, eggye lyonna ne liyimirira, ne balekeraawo okuwondera Yisirayeli; tebaayongera na kulwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja bonna ne bayimirira, ne balekeraawo okugoba Isirayiri, era n’okubalwanyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu bonna ne bayimirira, so tebeeyongera kuwondera Isiraeri. Awo olutalo ne lulyoka luggwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere okulabula basajja be ne balekera awo okuwondera Abayisirayeli. Awo olutalo ne lulyoka luggwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu bonna ne bayimirira, so tebeeyongera kugoberera Isiraeri, so tebaalwana nate lwa kubiri.